Ekitabo Ekiyitibwa 
Okukungubaga  
 1
Yerusaalemi Kifuuse Matongo 
 1 Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa! 
Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga, 
nga kifuuse nga nnamwandu! 
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza, 
afuuse omuddu omukazi. 
 2 Ekiro akaaba nnyo nnyini, 
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge. 
Mu baganzi be bonna, 
talina n’omu amubeesabeesa. 
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe, 
bafuuse balabe be. 
 3 Yuda agenze mu buwaŋŋanguse 
oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu. 
Kati abeera mu bannamawanga, 
talaba kifo kya kuwummuliramu. 
Bonna abamunoonya bamusanga 
mu nnaku ye. 
 4 Enguudo za Sayuuni zikungubaga, 
kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa. 
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo, 
bakabona be, basinda; 
bawala be abaweereza bali mu buyinike, 
naye yennyini ali mu nnaku. 
 5 Abamuyigganya bafuuse bakama be; 
abalabe be beeyagala, 
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku, 
olw’ebibi bye ebingi. 
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse, 
bawambiddwa omulabe. 
 6 Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni 
kimuweddeko, 
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi 
ezibuliddwa omuddo; 
mu bunafu, 
badduse ababagoba. 
 7 Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana, 
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna 
bye yalinanga mu nnaku ez’edda. 
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe, 
tewaali n’omu amubeera; 
abalabe be ne bamutunuulira 
ne bamusekerera olw’okugwa kwe. 
 8 Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, 
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu. 
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma, 
kubanga balabye bw’asigalidde awo; 
ye yennyini asinda, 
era akwatibwa ensonyi. 
 9 Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye; 
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja. 
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo; 
tewaali n’omu amubeesabeesa. 
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange, 
kubanga omulabe awangudde.” 
 10 Omulabe yagololera omukono 
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo; 
yalaba amawanga amakaafiiri 
nga gayingira awatukuvu we, 
beebo be wali ogaanye 
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo. 
 11 Abantu be bonna basinda 
nga bwe banoonya ekyokulya; 
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, 
okusobola okuba abalamu. 
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo 
kubanga nnyoomebwa.” 
 12 “Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo? 
mwetegereze mulabe 
obanga waliwo obuyinike obwenkana, 
obwantukako, 
Mukama bwe yanteekako 
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi. 
 13 “Yaweereza omuliro okuva waggulu, 
ne gukka mu magumba gange. 
Yatega ebigere byange akatimba, 
n’anzizaayo emabega. 
Yandeka mpuubadde, 
nga nzirise olunaku lwonna. 
 14 “Ebibi byange binfuukidde ekikoligo; 
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe. 
Binzitoowerera mu bulago, 
era bimmazeemu amaanyi. 
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo 
be siyinza kugumiikiriza. 
 15 “Mukama anyoomye 
abalwanyi abazira bonna abaali nange; 
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa, 
okuzikiriza abavubuka bange. 
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda, 
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola. 
 16 “Kyenva nkaaba, 
amaaso gange ne gajjula amaziga, 
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa, 
ayinza okunzizaamu amaanyi. 
Abaana bange banakuwavu 
kubanga omulabe awangudde.” 
 17 Sayuuni agolola emikono gye, 
naye tewali n’omu amudduukirira. 
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo 
baliraanwa be babeere balabe be; 
Yerusaalemi afuuse 
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo. 
 18 “Mukama mutuukirivu, 
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye. 
Muwulirize mmwe amawanga gonna, 
mutunuulire okubonaabona kwange; 
Abavubuka bange ne bawala bange 
batwalibbwa mu busibe. 
 19 “Nakoowoola bannange bannyambe, 
naye tebanfaako; 
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange 
bazikiririra mu kibuga 
nga banoonya ekyokulya 
baddemu amaanyi. 
 20 “Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu! 
Ndi mu kubonaabona, 
n’omutima gwange teguteredde 
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde. 
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo, 
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere. 
 21 “Abantu bawulidde okusinda kwange, 
naye tewali n’omu ananyamba. 
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange; 
basanyukidde ekyo ky’okoze. 
Olunaku lwe walangirira, 
lubatuukeko, babeere nga nze. 
 22 “Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, 
nga nze bwe wambonereza. 
Okusinda kwange kungi 
n’omutima gwange guzirika.”