1Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
2Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.
Mutendereze Mukama.